Abaavu

Ebyawandiikibwa bivumirira nnyo okunyigiriza abaavu, nga bissa essira ku Katonda okubakuuma n'okusalira omusango abo ababayisa obubi. Bikoowoola abantu okuba n'obwenkanya, ekisa n'okuyamba abanafu, era biraga nti engeri gye tuyisaamu abaavu eraga enkolagana yaffe ne Katonda.

Ekiragiro obutanyigiriza baavu

“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri. “Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga. Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga. Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta n’ekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu n’abaana bammwe bamulekwa. (Okuva 22:21-24)
Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa. (Yobu 34:28)
Omufuzi anyigiriza abaavu, afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime. (Engero 28:3)

Ababi banyigiriza abaavu

Omusirusiru ayogera bya busirusiru, n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. Akola eby’obutatya Katonda, era ayogera bya bulimba ku Mukama, n’abayala abaleka tebalina kintu, n’abalumwa ennyonta abamma amazzi. Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu. (Isaaya 32:6-7)

Ennyinyonnyola y'abantu abanyigiriza abaavu

Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa, bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola. (Engero 28:15)
...n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala, n’emba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, n’abo abali mu kwetaaga. (Engero 30:14)

Omusango ku abo abanyigiriza abaavu

Abaana be basaana bakolagane n’abaavu, emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe. (Yobu 20:10)
Aliwandula eby’obugagga bye yamira; Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema. (Yobu 20:15)
Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde; talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe, kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba, yawamba amayumba g’ataazimba. “Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe, wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera. (Yobu 20:18-20)
Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe. Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo, gwokye ebisigadde mu weema ye. (Yobu 20:26)
Ebintu by’ennyumba biritwalibwa, biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda. (Yobu 20:28)
Ababi basowoddeyo ebitala byabwe ne baleega emitego gy’obusaale, batte abaavu n’abali mu kwetaaga era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu. Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini, n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa. (Zabbuli 37:14-15)
Amubanja ajje awambe ebibye byonna; n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera. (Zabbuli 109:11)
Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa; naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga, n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa. (Zabbuli 109:16)
Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu. (Engero 22:16)
Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga. Kubanga Mukama alibawolereza, n’abo ababanyaga alibanyaga. (Engero 22:22-23)
Mukama Katonda asala omusango gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe. Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna. (Isaaya 3:14-15)
Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza, okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe! (Isaaya 10:1-2)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.” (Yeremiya 22:1-5)
Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. (Ezeekyeri 22:7)
Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya. (Ezeekyeri 22:29)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto. Balinnyiririra emitwe gy’abaavu mu nfuufu, n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange. (Amosi 2:6-7)
Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya, mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku, era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.” Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika n’amalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba. (Amosi 4:1-2)
Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo. Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya era munyooma n’abo aboogera amazima. Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu. Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya. (Amosi 5:9-12)
Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi, nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse, mmwe abagula abaavu n’effeeza n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano. (Amosi 8:4-6)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’ “Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo. (Zekkaliya 7:9-12)
“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (Malaki 3:5)

Okusaba Mukama asalire omusango okunyigirizibwa kw'abaavu

Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi, osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde. (Zabbuli 94:2)
Batta nnamwandu n’omutambuze; ne batemula ataliiko kitaawe. (Zabbuli 94:6)
Ne boogera nti, “Katonda talaba; Katonda wa Yakobo tafaayo.” (Zabbuli 94:7)

Eky'okulabirako eky'okunyigiriza abaavu

Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu n’abatalina musango, awatali kugamba nti bakwatibwa nga babba. Ate nga wadde byonna biri bwe bityo (Yeremiya 2:34)

Abantu abeediini abanyigiriza abaavu

Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.” (Makko 12:38-40)
“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.” (Lukka 20:46-47)

Okunyigiriza abaavu kya bulijjo

Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. (Omubuulizi 5:8)

Kuuma/yamba abaavu/abatalina mubeezi

Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo. Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu. (Engero 31:8-9)
Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu. (Isaaya 1:17)
...ggwe ennyumba ya Dawudi, “ ‘kino Mukama ky’agamba: Musale emisango mu bwenkanya, mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza, obusungu bwange buleme kuvaayo bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze, nga tewakyali n’omu abuziyiza. (Yeremiya 21:12)

Abatya Katonda bayamba abaavu

Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu, naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo. (Engero 29:7)
Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu? (Yobu 30:25)

Mukama awa omukisa abo abayamba abaavu

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi. Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be. Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi. (Zabbuli 41:1-3)
Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo. (Engero 19:17)

Yawa omukisa omukulembeze eyayamba abaavu

Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa, obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna. (Engero 29:14)
Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa. “Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; (Yeremiya 7:5-9)

Liisa abaavu era Mukama alikusasula

Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.” Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.” Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’ “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’ “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’ “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’ “Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe. “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’ “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. (Lukka 14:12-23)

Salira omwavu omusango mu bwenkanya

“Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu. (Okuva 23:6)
Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. (Ekyamateeka Olwokubiri 24:17)

Saasira abaavu

Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima. Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga. Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.” (Danyeri 4:25-27)

Abo abatakuuma baavu balisalirwa omusango

Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi, enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe. Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga, ne bagejja era ne banyirira. Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya, abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango, era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba. Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?” bw’ayogera Mukama. “Nneme okwesasuza ku ggwanga eriri nga eryo? (Yeremiya 5:27-29)

Ekibi kya Sodomu: obutayamba baavu

“ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. (Ezeekyeri 16:49)

Eky'okulabirako ky'omukulembeze ataakuuma baavu

Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako. (Isaaya 1:23)

Engeri gye tuyisaamu abaavu eraga ebikwata ku Mukama

Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda. (Engero 14:31)
Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa. (Engero 17:5)

Omugabo gwa Katonda eri abaavu

Mukama agabira/akuuma abaavu n'abali mu bwetaavu

Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. (Ekyamateeka Olwokubiri 10:18)
Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi, n’abawonya ekitala kyabwe. (Yobu 5:15)
Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna. (Zabbuli 9:18)
Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba era ojja kubikolako. Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo, kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe. (Zabbuli 10:14)
Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.” (Zabbuli 12:5)
Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula, n’amumalako ebyali bimuteganya byonna. (Zabbuli 34:6)
Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi, n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.” (Zabbuli 35:10)
Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange. (Zabbuli 40:17)
Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu, aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala. (Zabbuli 68:6)
...abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda, abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo. (Zabbuli 68:10)
Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga, era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma. (Zabbuli 69:33)
Alyanukula okusaba kw’abanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe. (Zabbuli 102:17)
Abamu baataataaganira mu malungu nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga. (Zabbuli 107:4)
Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga, n’amuwonya abo abaagala afe. (Zabbuli 109:31)
Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu, (Zabbuli 113:7)
Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya. (Zabbuli 132:15)
Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya. (Zabbuli 140:12)
Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe. (Zabbuli 146:7)
Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya. (Zabbuli 146:9)
Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi. (Zabbuli 147:6)
Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu. (Engero 15:25)
...naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke. (Isaaya 11:4)
Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala. (Isaaya 14:30)
Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gw’ab’entiisa guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge (Isaaya 25:4)
“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka. (Isaaya 41:17)
Muyimbire Mukama Katonda. Mumuwe ettendo. Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi. (Yeremiya 20:13)

Okusaba Mukama ayambe abaavu

Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo. Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga eby’ewala bamuwenga omusolo; bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba bamutonerenga ebirabo. Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga, n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi. Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba. Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali. Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku. (Zabbuli 72:4, 10, 12-15)
Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna. (Zabbuli 74:21)
Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya. Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi. (Zabbuli 82:3-4)
Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange, nnwanirira olw’erinnya lyo; era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo. Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga, n’omutima gwange gunyolwa nnyo. (Zabbuli 109:21-22)

Endowooza y'abantu ku mugabo gwa Katonda n'abaavu

Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye. Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo. Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka. Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe. Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi. Olw’okubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo. Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama. Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja. Olw’okubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde. Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta. Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango. Omutemu agolokoka nga obudde buzibye n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga; ekiro abbira ddala. (Yobu 24:2-12, 14)

Endowooza ya Katonda ku baavu

...nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. (Okubikkulirwa 2:9)
Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba. (Okubikkulirwa 3:17-18)

Mukama yalonda abanafu okuswaza ab'amaanyi

Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, (1 Abakkolinso 1:26-27)

Mukama yakola abantu bonna

Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna. (Engero 22:2)
Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso. (Engero 29:13)

Endowooza y'abantu ku baavu

Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru? Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala, agasibwa ki? (Omubuulizi 6:8)

Ebizibu n'emigaso eri abaavu

Ebizibu by'abaavu

Abaavu balina mikwano mitono

Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu, naye abagagga baba n’emikwano mingi. (Engero 14:20)
Obugagga buleeta emikwano mingi, naye emikwano gy’omwavu gimuddukako. (Engero 19:4)
Baganda b’omwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira, naye tabalaba. (Engero 19:7)

Abaavu babonaabona olw'obutali bwenkanya

Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna. (Engero 13:23)

Abaavu boogera n'abagagga mu bwetoowaze

Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo. (Engero 18:23)

Abaavu baweereza abagagga

Omugagga afuga abaavu, naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola. (Engero 22:7)

Abaavu tebafiibwako

...waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo. (Omubuulizi 9:14-16)

Obwavu

Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu. (Engero 10:15)

Okusaba obutaba mwavu

Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama, tobinnyimanga nga sinnafa: Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange. (Engero 30:7-9)

Emigaso eri abaavu

Abaavu bayitibwa ba mukisa

Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe. (Lukka 6:20)
“Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu. (Lukka 6:24)

Abaavu bagagga mu kukkiriza

Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? (Yakobo 2:5)

Abaavu babuulirwa enjiri

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera. (Isaaya 61:1)
Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?” Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. (Matayo 11:2-5)
“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe, (Lukka 4:18)
Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. (Lukka 7:22)

Abaavu tebajja kuwambibwa olw'obugagga

Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina ky’atya. (Engero 13:8)

Abaavu abamanyi Mukama balisanyusibwa mu ggulu

Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava. Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga. Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo. “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa. Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’ “Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. (Lukka 16:19-25)

Abaavu basobola okwenyumiriza ng'abaana ba Katonda

Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. (Yakobo 1:9-10)

Isirayiri bw'erizzibwawo, abaavu baliganyulwa

Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate, n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri. (Isaaya 29:19)

Omwavu, naye ow'amagezi, ategeera omugagga

Omugagga alowooza nti mugezi, naye omwavu alina okutegeera, amunyooma. (Engero 28:11)

Ebintu obwavu bye businga obulungi

Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula. (Engero 19:1)
Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba. (Engero 19:22)
Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga ow’amakubo amakyamu. (Engero 28:6)

Eby'okulabirako by'abaavu

Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” (1 Samwiri 18:23)
Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa! (Zabbuli 70:5)
Okusaba kwa Dawudi. Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu. (Zabbuli 86:1)
Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.” (Okukungubaga 1:11)
Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.” Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri. (Lukka 2:22-24)
Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; (1 Abakkolinso 4:11-12)
...naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna. (2 Abakkolinso 6:4-5, 10)
...mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. (2 Abakkolinso 11:27)
Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi. Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. (Abafiripi 4:11-14)

Abaavu/abagagga mu kkanisa

Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde. Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. (1 Abakkolinso 11:18-22)

Okugabira abaavu

Okuzzaayo ettaka

Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire. Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro. “Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini. (Ebyabaleevi 25:11-13)

Amateeka agakwata ku baavu abaafuuka abaddu

“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe. Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi. Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe. Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe. “Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga, anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula: Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula. Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera. Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula. Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula. Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba. “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. (Ebyabaleevi 25:39-54)

Obutagondera mateeka kwaleeta omusango

“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, mu nsi ey’obuddu. Nagamba nti, ‘Buli mwaka ogw’omusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gy’ali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako. Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange. Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja n’abakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate. “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi. (Yeremiya 34:13-17)

Ebirala

Ebintu ebifuula omuntu omwavu

Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa. (Engero 13:18)
Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi. (Engero 20:13)
Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala. (Engero 21:17)
Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge, n’abalulunkanira ennyama: Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala, n’okubongoota olutata kubambaza enziina. (Engero 23:20-21)

Tewandibadde mwavu mu nsi singa abantu baagondera ddala

Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. (Ekyamateeka Olwokubiri 15:4-5)

Abaavu bokka be baasigala mu nsi eyawangulwa

N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka. (2 Bassekabaka 24:14)
Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga. (2 Bassekabaka 25:12)
Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu. (Yeremiya 39:10)
Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (Yeremiya 40:7)
Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. (Yeremiya 52:15)